Isaiah 47

Babulooni Esalirwa Omusango

1 a“Omuwala wa Babulooni embeerera,
kakkana wansi otuule mu nfuufu,
tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka,
ggwe omuwala w’Abakaludaaya.
Ekibuga ekitawangulwangako.
Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
2 bDdira olubengo ose obutta.
Ggyako akatimba ku maaso,
situla ku ngoye z’oku magulu
oyite mu mazzi.
3 cObwereere bwo bulibikkulwa;
obusungu bwo bulyeraga.
Nzija kuwoolera eggwanga;
tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”

4 dOmununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
ye Mutukuvu wa Isirayiri.

5 e“Tuula mu kasirise
yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya,
tebakyakuyita kabaka omukazi
afuga obwakabaka obungi.
6 fNnali nsunguwalidde abantu bange,
ne nyonoonesa omugabo gwange.
Nabawaayo mu mikono gyo,
n’otobasaasira n’akatono.
N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
7 gWayogera nti,
‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’
naye n’otolowooza ku bintu bino
wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.

8 h“Kale nno kaakano wuliriza kino,
ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
Siribeera nnamwandu
wadde okufiirwa abaana.’
9 iEbintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
eky’okufiirwa abaana
n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 jWeesiga obutali butuukirivu bwo,
n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 kKyokka ensasagge erikujjira
era tolimanya ngeri yakugyeggyako;
n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;
akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.

12 l“Weeyongere nno n’obulogo bwo
n’obufumu bwo obwayinga obungi,
bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo.
Oboolyawo olibaako kyoggyamu,
oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 mAmagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.
Abalagulira ku munyeenye basembera,
n’abo abakebera emmunyeenye,
era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 nLaba, bali ng’ebisusunku
era omuliro gulibookya!
Tebalyewonya
maanyi ga muliro.
Tewaliiwo manda ga kukubugumya
wadde omuliro ogw’okwota!
15 oEkyo kye bayinza okukukolera kyokka;
b’obonyeebonye nabo
b’oteganidde okuva mu buto bwo.
Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye
era tewali n’omu ayinza okukulokola.”
Copyright information for LugEEEE